1 Samuel 2:27-36

Ebyalangibwa ku Nnyumba ya Eri

27 aAwo ne wabaawo omusajja wa Katonda eyajja eri Eri, n’amugamba nti, “Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, ‘Sseeraga bulungi eri ennyumba ya jjajjaawo mu Misiri bwe baali bafugibwa Falaawo? 28 bNalonda jjajjaawo okuva mu bika byonna ebya Isirayiri okuba kabona wange, okwambukanga ku kyoto kyange, okwoterezangako obubaane, n’okwambalanga ekkanzu ey’obwakabona eya bafuta mu maaso gange. Era ne mpa ennyumba ya jjajjaawo ebiweebwayo byonna ebyokebwa Abayisirayiri. 29 cLwaki munyooma ssaddaaka yange n’ekiweebwayo kyange bye nalagira, okuweebwangayo mu yeekaalu yange? Lwaki ossaamu batabani bo ekitiibwa okunsinga, nga mweddiza ebitundu ebisinga obusava ku buli kiweebwayo abantu bange, Isirayiri, kye bawaayo?’

30 dMukama Katonda wa Isirayiri kyava ayogera nti, ‘Nasuubiza nti ennyumba yo n’ennyumba ya jjajjaawo be banaaweerezanga mu maaso gange ennaku zonna;’ naye kaakano Mukama agamba nti, ‘Kikafuuwe! Abanzisaamu ekitiibwa bennassangamu ekitiibwa, naye abo abonnyooma banaaswazibwanga. 31 eLaba ekiseera kijja lwe ndikumalamu amaanyi era n’ennyumba ya jjajjaawo nayo ne ngimalamu amaanyi, waleme okubaawo n’omu aliwangaala okutuuka mu bukadde, 32 folyoke olabire ennaku mu nnyumba yange. Newaakubadde Isirayiri erifuna omukisa, tewalibaawo n’omu ku b’omu nnyumba yo aliwangaala n’akaddiwa. 33Omuntu yekka ku bantu bo gwe siizikirize, gwe ndikkiriza okumpeereza ku kyoto kyange, alisigalawo kukulabya nnaku, na kukunakuwaza mu mutima, na kukukaabya maziga; era bazzukulu bo bonna banaafanga nga kyebajje bavubuke.’

34 g“ ‘Ekirituuka ku batabani bo, Kofuni ne Finekaasi, ke kaliba akabonero gy’oli era bombi balifa ku lunaku lumu. 35 hNdyeyimusiza kabona omwesigwa, aligoberera ebiri mu mutima gwange ne mu mmeeme yange. Ndinywereza ddala ennyumba ye, era aliweerezanga ennaku zonna mu maaso g’oyo gwe ndifukako amafuta. 36 iEra buli aliba asigaddewo ku b’omu nnyumba yo alijja n’amuvuunamira ng’amusaba ekitundu kya ffeeza n’omugaati ng’ayogera nti, “Nkwegayiridde nnonda okuba omu ku bakabona, nsobole okufuna ekyokulya.” ’ ”

Copyright information for LugEEEE